×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 147

1
Mutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga ajjudde ekisa, n'oluyimba olumutendereza lumusaanira.
2
Mukama azimbira ddala Yerusaalemi; Akuŋŋaanya wamu abawaŋŋangusibwa aba Isiraeri.
3
Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe.
4
Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo.
5
Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi; Okutegeera kwe tekulowoozekeka.
6
Mukama awanirira abawombeefu; Asuula wansi ababi.
7
Muyimbire Mukama n'okwebaza; Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe;
8
Abikka ku ggulu n'ebire, Ateekerateekera ensi enkuba, Amereza omuddo ku nsozi.
9
Awa ensolo emmere yaazo, Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba.
10
essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi; wadde mu magulu g'omuntu.
11
Mukama asanyukira abo abamutya, Abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
12
Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi; Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni.
13
Kubanga anyweza ebisiba by'enzigi zo; Awadde omukisa abaana bo munda yo.
14
Aleeta emirembe mu nsalo zo; Akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
15
Aweereza ekiragiro kye ku nsi; Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.
16
Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Omusulo ogukutte agusaasaanya ng'evvu.
17
Omuzira agukanyuga ng'obuyinjayinja; Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze?
18
Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa; Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta.
19
Alaga Yakobo ekigambo kye, Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri.
20
Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna; N'emisango gye tebagimanyanga. Mutendereze Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes