EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mutendereze Mukama; Mutendereze Mukama, nga musinziira mu ggulu; Mumutendereze mu bifo ebya waggulu. |
| 2 |
| Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna; Mumutendereze, mmwe eggye lye lyonna. |
| 3 |
| Mumutendereze, mmwe enjuba n'omwezi; Mumutendereze, mmwe emmunyeenye zonna ezaaka. |
| 4 |
| Mumutendereze, mmwe eggulu eriri waggulu ennyo, Nammwe amazzi agali waggulu w'eggulu. |
| 5 |
| Bitendereze erinnya lya Mukama; Kubanga yalagira, ne bitondebwa. |
| 6 |
| Era yabinyweza okutuusa emirembe n'emirembe; Yateeka etteeka eritalidiba. |
| 7 |
| Mutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi, Mmwe balukwata, n'ebifo byonna eby'obuziba; |
| 8 |
| Omuliro n'omuzira, serugi n'omukka; Omuyaga ogutuukiriza ekigambo kye; |
| 9 |
| Ensozi n'obusozi bwonna; Emiti egibala n'emivule gyonna; |
| 10 |
| Ensolo n'ente zonna; Ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka; |
| 11 |
| Bakabaka b'ensi n'amawanga gonna; Abalangira n'abalamuzi bonna ab'ensi; |
| 12 |
| Abavubuka n'abawala; Abakadde n'abato. |
| 13 |
| Batendereze erinnya lya Mukama; Kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa. Ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu. |
| 14 |
| Era agulumizizza ejjembe ery'abantu be, Ettendo ery'abatukuvu be bonna; Be baana ba Isiraeri, abantu abamuli okumpi. Mutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/148.mp3
150
148