Luganda Bible
|
| 1 |
| Mumutendereze Mukama. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, N'ettendo lye mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu: |
| 2 |
| Isiraeri asanyukire oyo eyamukola: Abaana ba Sayuuni bajagulize kabaka waabwe. |
| 3 |
| Batendereze erinnya lye nga bazina: Bayimbe okumutendereza n'ekitaasa n'ennanga. |
| 4 |
| Kubanga Mukama asanyukira abantu be: Aliwonya abawombeefu n'obulokozi. |
| 5 |
| Abatukuvu bajagulize ekitiibwa: Bayimbirenga olw'essanyu ku bitanda byabwe. |
| 6 |
| Ettendo eggulumivu lya Katonda libenga mu bulago bwabwe, N'ekitala eky'obwogi obubiri mu ngalo zaabwe; |
| 7 |
| Okuwalana eggwanga ku mawanga, N'okubonyaabonya abantu; |
| 8 |
| Okusiba bakabaka baabwe n'enjegere, N'abakungu baabwe n'ebisiba eby'ebyuma; |
| 9 |
| Okubatuukirizaako omusango ogwawandiikibwa: Abatukuvu be bonna balina ekitiibwa ekyo. Mumutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/149.mp3
150
149