×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 149

1
Mutendereze Mukama! Mumuyimbire oluyimba oluggya, mumutenderereze abeesigwa be we bakuŋŋaanidde.
2
Yisirayeli sanyuka olw'ebyo Omutonzi wo by'akola. Abantu b'e Siyooni musanyukire Kabaka wammwe.
3
Mutendereze erinnya lye nga muzina, nga muyimbira ku ŋŋoma ne ku nnanga,
4
kubanga Mukama asanyukira abantu be, agulumiza abeetoowaze ng'abawa obuwanguzi.
5
Abamwesiga bajaguze kubanga bawangudde; bayimbe olw'essanyu, ku buliri bwabwe.
6
Bayimbe nnyo nga batendereza Katonda, nga bakutte ebitala ebyogi mu ngalo,
7
okuwoolera eggwanga ku mawanga, n'okubonereza abantu;
8
okusiba bakabaka n'enjegere, abakungu baabwe n'empingu,
9
balyoke batuukirize ensala y'omusango eyabateekerwawo. Ekyo kye kitiibwa ky'abeesigwa be. Mutendereze Mukama!
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes