Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mutendereze Mukama! Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu. |
| 2 |
| Isirayiri asanyukirenga eyamutonda; n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe! |
| 3 |
| Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina, bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa. |
| 4 |
| Kubanga Mukama asanyukira abantu be, n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi. |
| 5 |
| Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino; bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu. |
| 6 |
| Batenderezenga Katonda waabwe, bakwate ekitala eky’obwogi obubiri, |
| 7 |
| bawoolere eggwanga, babonereze n’amawanga, |
| 8 |
| bateeke bakabaka baago mu njegere, n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma, |
| 9 |
| babasalire omusango ogwabawandiikirwa. Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna. Mutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/149.mp3
150
149