×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 149

1
Mutendereze Mukama. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, N'ettendo lye mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu.
2
Isiraeri asanyukire oyo eyamukola: Abaana ba Sayuuni bajagulize kabaka waabwe.
3
Batendereze erinnya lye nga bazina; Bamutendereza nga bwe bakuba ebitaasa n'ennanga.
4
Kubanga Mukama asanyukira abantu be; Abawombeefu abawa obuwanguzi;
5
Abatukuvu bajagulize ekitiibwa; Bayimbirenga olw'essanyu ku bitanda byabwe.
6
Batendereze nnyo Katonda bwabwe, bakwate ekitala eky'obwogi obubiri mu ngalo zaabwe;
7
Okuwoolera eggwanga ku mawanga, N'okubonyaabonya abantu;
8
Okusiba bakabaka baabwe n'enjegere, N'abakungu baabwe n'ebisiba eby'ebyuma;
9
Babasalire omusango ogwabawandiikirwa; Abatukuvu be bonna balina ekitiibwa ekyo. Mutendereze Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes