×

Luganda Bible

Zabbuli 15

1
Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani? Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu ye ani?
2
Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Era ayogera eby'amazima mu mutima gwe.
3
Atawaayiriza n'olulimi lwe, So mukwano gwe tamukola bubi, So takkiriza kibi ku muliraanwa we.
4
Amaaso ge ganyooma omubi; Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Bw'alayira ne bw'afiirwa takyuka.
5
Atawolera bintu bye magoba. So taweebwa mpeera ku atalina musango. Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes