×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 15

1
Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu weema yo? Ani anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu?
2
Ye oyo awulira Katonda mu byonna, era akola ebituufu bulijjo. Ye oyo ayogera eby'amazima omutali bukuusa,
3
era atawaayiriza. Ye oyo atakolako banne kabi, era atasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4
Ye oyo anyooma abo abatasiimibwa Katonda, naye assaamu ekitiibwa abo abawulira Mukama. Ye oyo atuukiriza ky'asuubizza ne bwe kimufiiriza.
5
Ye oyo awola nga tagenderera kufuna magoba, era atagulirirwa kusaliriza atalina musango. Akola ebyo, anaabeeranga munywevu emirembe gyonna.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes