Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo? Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu? |
| 2 |
| Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola eby’obutuukirivu, era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe. |
| 3 |
| Olulimi lwe talwogeza bya bulimba, era mikwano gye tagiyisa bubi, so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be. |
| 4 |
| Anyooma ababi, naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Atuukiriza ky’asuubiza ne bwe kiba nga kimulumya. |
| 5 |
| Bw’awola tasaba magoba; so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna. Oyo akola ebyo aliba munywevu emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/015.mp3
150
15