×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 15

1
Ayi Mukama, ani anaatuulanga mu weema yo? Ani anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu?
2
Ye oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Ayogera eby'amazima mu mutima gwe.
3
Era atawaayiriza. Mukwano gwe tamukola kabi, Era tasaasaanya ŋŋambo ku muliraanwa we.
4
Amaaso ge ganyooma omubi; Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Bw'alayira ne bw'afiirwa, takyuka.
5
Atawolera bintu bye magoba. Tagulirirwa kusaliriza atalina musango. Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes