Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mutendereze Mukama. Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu, mutendereze amaanyi ge mu ggulu. |
| 2 |
| Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi, mumutendereze olw'obukulu bwe obutuukirivu. |
| 3 |
| Mumutendereze mu ddoboozi ery'eŋŋombe, mumutendereze mu ndere ne mu nnanga. |
| 4 |
| Mumutendereze mu ŋŋoma ne mu kuzina, mumutendereze mu bivuga eby'enkoba n'amakondeere. |
| 5 |
| Mumutendereze mu nsaasi ezivuga ennyo, mumutendereze mu nsaasi ezisaala. |
| 6 |
| Ebiramu byonna bitendereze Mukama. Mutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/150.mp3
150
150