EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mutendereze Mukama. Mutendereze Katonda mu watukuvu we; Mutendereze amaanyi ge mu bbanga. |
| 2 |
| Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi, Mumutendereze ng'obukulu bwe obulungi bwe buli. |
| 3 |
| Mumutendereze n'eddoboozi ery'ekkondeere; Mumutendereze n'amadinda n'ennanga. |
| 4 |
| Mumutendereze n'ekitaasa n'okuzina; Mumutendereze n'ebyo ebirina engoye n'endere. |
| 5 |
| Mumutendereze n'ebitaasa ebivuga ennyo; Mumutendereze n'ebitaasa eby'eddoboozi ettono. |
| 6 |
| Buli ekirina omukka kitendereze Mukama. Mutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/150.mp3
150
150