Luganda Bible
|
| 1 |
| Onkuume, ai Katonda: kubanga nkwesiga ggwe. |
| 2 |
| ŋŋambye Mukama nti Ggwe oli Mukama wange: Sirina bulungi bwonna awatali ggwe. |
| 3 |
| Abatukuvu abali mu nsi, Abo be basinga obulungi, be nsanyukira essanyu lyange lyonna. |
| 4 |
| Okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako abo abawaanyisa Mukama olwa katonda Omulala: Esaddaaka zaabwe ez'okunywa ez'omusaayi ssiiziwengayo. So ssiitwalenga mannya gaabwe mu mimwa gyange. |
| 5 |
| Mukama gwe mugabo ogw'obusika bwange n'ogw'ekikompe kyange: Gwe okuuma ebyange. |
| 6 |
| Emigwa ginguddeko mu bifo ebirungi; Mazima nnina obusika obulungi. |
| 7 |
| Neebazanga Mukama, anteeserezza ebigambo: Mazima, emmeeme yange enjigiriza mu biseera eby'ekiro. |
| 8 |
| Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana. |
| 9 |
| Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'ekitiibwa kyange kijaguza: Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe. |
| 10 |
| Kubanga tolireka mmeeme yange mu magombe; So toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda. |
| 11 |
| Onondaganga ekkubo ery'obulamu: Gy'oli waliwo essanyu erituukirira; Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/016.mp3
150
16