×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 16

1
Ayi Katonda, nkuuma, kubanga neesiga ggwe.
2
Ŋŋamba Mukama nti: “Ggwe Mukama wange, sirina kirungi na kimu ggwe w'otoli.”
3
Nsanyukira nnyo abatukuvu, era be njagala okubeeranga nabo mu nsi.
4
Abanoonyaayo Katonda omulala be beeyongerako bennyini okunakuwala. Sijja kwetaba nabo mu kutambira kwabwe, sijja kusinza balubaale baabwe.
5
Ayi Mukama, ggwe nnonze, ggwe wange. Ebyange byonna biri mu ggwe.
6
Ebintu byonna biŋŋendedde bulungi, omugabo gwange mulungi ddala.
7
Neebaza Mukama ambuulirira, ate ekiro omutima gwange gundabula.
8
Mmanyi nti Mukama ali nange bulijjo, andi kumpi, sijja kusagaasagana.
9
Kyenva nsanyuka ne njaguza, nzenna ne mbeera mirembe,
10
kubanga tolindeka magombe, era toliganya mutukuvu wo kuvunda.
11
Olindaga ekkubo erituusa mu bulamu. Njijula essanyu okubeera w'oli. Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes