Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Onkuume, Ayi Katonda, kubanga ggwe buddukiro bwange. |
| 2 |
| Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange, ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.” |
| 3 |
| Abatukuvu abali mu nsi be njagala era mu bo mwe nsanyukira. |
| 4 |
| Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala yeeyongera. Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi, wadde okusinza bakatonda baabwe. |
| 5 |
| Mukama, ggwe mugabo gwange, era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange. |
| 6 |
| Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa, ddala ddala omugabo omulungi. |
| 7 |
| Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya ne mu kiro ayigiriza omutima gwange. |
| 8 |
| Nkulembeza Mukama buli kiseera, era ali ku mukono gwange ogwa ddyo, siinyeenyezebwenga. |
| 9 |
| Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza; era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe. |
| 10 |
| Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda. |
| 11 |
| Olindaga ekkubo ery’obulamu; w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu, era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/016.mp3
150
16