EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Katonda, nkuuma, kubanga nneesiga ggwe. |
| 2 |
| Ŋŋamba Mukama nti, “Ggwe oli Mukama wange, Sirina bulungi bwonna awatali ggwe.” |
| 3 |
| Abatukuvu abali mu nsi, Abo be basinga obulungi, be nsanyukira okubeera n'abo. |
| 4 |
| Abo abanoonyayo katonda omulala okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako. Sijja kwetabanga mu ssaddaaka ez'okuyiwa omusaayi. Era ssi yatulenga mannya ga ba katonda baabwe. |
| 5 |
| Mukama, gwe mugabo gwange, gwe nnonze. Ggwe okuuma ebyange. |
| 6 |
| Byonna by'ompadde birungi. Mazima omugabo gwange mulungi ddala. |
| 7 |
| Neebazanga Mukama, anuŋŋaamya, Ate mu kiro emmeeme yange enjigiriza. |
| 8 |
| Nkulembeza Mukama bulijjo. Kubanga andi kumpi, sisagaasagaanenga. |
| 9 |
| Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'emmeeme yange n'ejaguza. Nzenna ne mbeera mu mirembe. |
| 10 |
| Kubanga tolindeka mu magombe, Era toliganya Omutukuvu wo kuvunda. |
| 11 |
| Olindaga ekkubo ery'obulamu. Gy'oli waliyo essanyu erijjuvu. Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/016.mp3
150
16