Luganda Bible
|
| 1 |
| Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ai Mukama, lowooza okukaaba kwange; Tega okutu owulire okusaba kwange, okutava mu mimwa egy'obukuusa. |
| 2 |
| Omusango gwange guve w'oli; Amaaso go gatunuulire obutuukirivu. |
| 3 |
| Wagezaako omutima gwange; wajja gye ndi ekiro; Wankema, n'otolaba kigambo; Mmaliridde akamwa kange obutayonoonanga. |
| 4 |
| Mu bikolwa by'abantu, olw'ekigambo eky'emimwa gyo Neekuumanga mu makubo ag'abantu abalina ekyejo |
| 5 |
| Olugendo lwange lwanywera mu makubo go, Ebigere byange tebiseereranga. |
| 6 |
| Nkukoowodde, kubanga ggwe ononziramu, ai Katonda: Ontegere okutu kwo, ompulire bye njogera. |
| 7 |
| Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga, Mu abo ababagolokokerako, n'omukono gwo ogwa ddyo. |
| 8 |
| Onkuume ng'emmunye ey'eriiso, Onkise mu kisiikirize eky'ebiwawaatiro byo, |
| 9 |
| Mu babi abannyaga, Mu balabe bange abaagala okunzita, abanzingiza. |
| 10 |
| Babikkiddwa amasavu gaabwe: N'akamwa kaabwe boogera eby'amalala. |
| 11 |
| Kaakano batuzingizizza mu bigere byaffe: Bakaliriza amaaso gaabwe okutusuula wansi. |
| 12 |
| Afaanana ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo, Era ng'omwana gw'empologoma ogw'ekisa we guteegera. |
| 13 |
| Golokoka, ai Mukama, Omuyimirire mu maaso, omumegge wansi: Omponye emmeeme yange eri omubi n'ekitala kyo; |
| 14 |
| Eri abantu n'omukono gwo, ai Mukama, Eri abantu ab'ensi, abalina omugabo gwabwe mu bulamu buno, N'olubuto lwabwe olujjuza obugagga bwo: Banyiye abaana, N'ebintu byabwe ebisigalawo babirekera abaana baabwe. |
| 15 |
| Nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu: Ndimatira bwe ndizuukuka n'ekifaananyi kyo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/017.mp3
150
17