Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama, wulira okuwoza kwange okw'amazima, tega okutu owulirize bye nkusaba, nga sirina bukuusa. |
| 2 |
| Ggwe oba osala omusango ngusinge, kubanga ggwe olaba ekituufu. |
| 3 |
| Omanyi ekiri mu mutima gwange, ne bw'ojja gye ndi ekiro n'ongeza, tojja kunsangamu kabi. Sirina kibi kye njogera, |
| 4 |
| ng'abangi bwe bakola. Mpulira ebiragiro byo, ne neewala amakubo g'abanyazi. |
| 5 |
| Bulijjo ntambulira mu kkubo lye wandaga, sirivaamu n'akatono. |
| 6 |
| Nkoowoola ggwe ayi Katonda, kubanga ggwe ononziramu. Tega okutu kwo, owulire bye ŋŋamba. |
| 7 |
| Laga ekisa kyo ekyewuunyisa, ggwe alokola abaddukira gy'oli okuwona abalabe baabwe. |
| 8 |
| Nkuuma nga bw'okuuma emmunye y'eriiso lyo, nkweka mu kisiikirize ky'ebiwaawaatiro byo, |
| 9 |
| omponye ababi abannyaga, abalabe bange abanzingiza okunzita. |
| 10 |
| Tebalina kisa era beewaanawaana. |
| 11 |
| Kaakano banzingizizza buli gye nzira, bandabiriza amaaso, balyoke bankube wansi. |
| 12 |
| Bali ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo bali ng'empologoma ento eyeekweka n'eteega. |
| 13 |
| Jjangu, ayi Mukama, olwanyise abalabe bange, obawangule. Mponya omubi ng'okozesa ekitala kyo. |
| 14 |
| Ayi Mukama, mponya abantu abalowooleza mu kufuna ebintu eby'ensi. Embuto zaabwe ozijjuze bye wabateekerateekera, abaana baabwe bafune ebibamala, wafikkewo n'ebirimala abazzukulu. |
| 15 |
| Naye nze ndikutunulako kubanga sazza musango. Era ndimatira bwe ndizuukuka ne nkulaba. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/017.mp3
150
17