×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 17

1
Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ayi Mukama, lowooza ku kukaaba kwange, Tega okutu owulire okusaba kwange, okutaliimu bukuusa.
2
Ggwe oba osala omusango nsinge, Kubanga ggwe omanyi ekituufu.
3
Omanyi ekiri mu mutima gwange, ne bw'ojja gye ndi ekiro, Nkebera, tojja kunsangamu kibi. Sijja kwonoona n'akamwa kange.
4
Sikola ng'abantu bwe bakola, nkwata ebiragiro byo. Neewala amakubo ag'abantu ababi.
5
Bulijjo ntambulira mu makubo go, Sigavaangamu n'akatono.
6
Nkukoowoola ggwe ayi Katonda, kubanga ggwe onoonziramu. Tega okutu kwo, owulire bye njogera.
7
Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga, N'obawonya abalabe baabwe
8
Onkuume ng'emmunye y'eriiso, Nkweka mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo,
9
Omponye ababi abannyaga, Abalabe bange abanzingiza okunzita.
10
Tebalina kisa, N'akamwa kaabwe boogera eby'amalala.
11
Kaakano banzingizizza buli gye nzira, Beekaliriza, balyoke bankube wansi.
12
Bali ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo, Era ng'empologoma ento eyeekweka n'eteega.
13
Golokoka, ayi Mukama, Olwanyise abalabe bange, Omponye omubi ng'okozesa ekitala kyo.
14
Ayi Mukama, mponya, Eri abantu ab'ensi, abalowooleza mu mugabo ogw'obulamu buno Embuto zaabwe ozijjuze bye wabateekerateekera, Abaana baabwe bafune ebibamala, Wafikkewo n'ebirimala abazzukulu.
15
Naye nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu, Ndimatira bwe ndizuukuka ne nkulaba.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes