|
| 1 |
|
| Nkwagala ayi Mukama, ggwe maanyi gange. |
|
| 2 |
|
| Mukama ye ankuuma, ye antaasa era ye andokola. Katonda wange kye kiddukiro kyange, ye antaasa ng'engabo, ye wa maanyi andokola n'ankuuma. |
|
| 3 |
|
| Mukama asaanira okutenderezebwa: mmukoowoola n'amponya abalabe bange. |
|
| 4 |
|
| Nali neetooloddwa akabi ak'okufa, amayengo ag'okunzikiriza ne ganjiikako. |
|
| 5 |
|
| Emiguwa egy'emagombe gyanneetooloola, emitego gy'olumbe ne gintaayiza. |
|
| 6 |
|
| Mu buyinike bwange nakoowoola Mukama, ne mpita Katonda wange okunnyamba. Yawulira eddoboozi lyange mu Ssinzizo lye, n'awuliriza bwe namusaba annyambe. |
|
| 7 |
|
| Ensi yayuuguuma, n'ekankana. Emisingi gy'ensozi gyajugumira, ne ginyeenyezebwa, nga Katonda asunguwadde. |
|
| 8 |
|
| Omukka gwanyooka mu nnyindo ze, omuliro ogusenkenya era n'amanda agaaka ne biva mu kamwa ke. |
|
| 9 |
|
| Yakutamya eggulu n'akka, ekizikiza ekikutte ennyo nga kiri wansi w'ebigere bye. |
|
| 10 |
|
| Yeebagala kerubi n'abuuka, n'agendera mangu ku biwaawaatiro by'embuyaga. |
|
| 11 |
|
| Yeebikka ekizikiza, ne kimukweka. Ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola. |
|
| 12 |
|
| Amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro byava ku kumyansa okuli mu maaso ge, ne biyita mu bire ebikutte. |
|
| 13 |
|
| Mukama era yabwatuka mu ggulu, eddoboozi ly'Atenkanika ne liwulirwa. Ne wabaawo amayinja ag'omuzira, n'amanda ag'omuliro. |
|
| 14 |
|
| Yalasa obusaale bwe, abalabe be n'abasaasaanya, n'abagoba n'okumyansa okungi. |
|
| 15 |
|
| Bwe wakayukira abalabe bo, ayi Mukama, era bwe wababoggolera mu busungu bwo, entobo y'ennyanja n'erabika, n'emisingi ensi kw'enyweredde ne gyeyerula. |
|
| 16 |
|
| Mukama yasinziira mu ggulu n'agolola omukono gwe n'ankwata, n'anzigya mu mazzi amangi. |
|
| 17 |
|
| Yamponya abalabe bange ab'amaanyi, n'abo abankyawa, abansinza amaanyi. |
|
| 18 |
|
| Bannumba nga ndi mu buzibu, naye Mukama ye yankuuma. |
|
| 19 |
|
| Yantuusa mu kifo ekigazi, n'amponya kubanga yanjagala. |
|
| 20 |
|
| Mukama yampa empeera, kubanga nakola ebirungi. Yampa omukisa, kubanga saalina musango, |
|
| 21 |
|
| kubanga nawulira amateeka ga Mukama, ne siva ku Katonda wange nga nkola ekibi. |
|
| 22 |
|
| Nakwata ebiragiro bye byonna, saajeemera mateeka ge. |
|
| 23 |
|
| Era saalina musango mu maaso ge, nneekuuma ne sikola kibi. |
|
| 24 |
|
| Mukama kyavudde ampa empeera, kubanga nkola ebirungi. Ampadde emikisa, kubanga sirina musango mu maaso ge. |
|
| 25 |
|
| Oli mwesigwa eri abo abeesigwa, oli mutuukirivu eri abatuukirivu. |
|
| 26 |
|
| Oli mulongoofu eri abalongoofu, naye oli mulabe eri ababi. |
|
| 27 |
|
| Olokola abo abanyoomebwa, naye otoowaza abeekulumbaza. |
|
| 28 |
|
| Ayi Mukama Katonda wange, ompa ekitangaala, n'ongobako ekizikiza. |
|
| 29 |
|
| Ggwe onnyamba okulumba eggye ly'abalabe bange. Ggwe ompa amaanyi okuwangula ekigo kyabwe. |
|
| 30 |
|
| Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, ebyo by'asuubiza byesigibwa. Ye ataasa bonna abamwesiga. |
|
| 31 |
|
| Mukama ye Katonda yekka, era Katonda waffe, ye yekka atutaasa. |
|
| 32 |
|
| Katonda ampa amaanyi, ye andagirira ekkubo eritaliimu kabi. |
|
| 33 |
|
| Ebigere byange abinyweza okutambula ng'eby'empeewo. Ankuumira waggulu ku nsozi. |
|
| 34 |
|
| Anjigiriza okulwana, ne nsobola okuleega omutego ogw'ekikomo. |
|
| 35 |
|
| Ayi Mukama, onkuuma era ondokola. Ompaniridde. Era obukkakkamu bwo bungulumizizza. |
|
| 36 |
|
| Ogaziyirizza ebigere byange ekkubo, siiseererenga kugwa. |
|
| 37 |
|
| Ngoba abalabe bange ne mbakwata, sikomawo nga sinnabazikiriza. |
|
| 38 |
|
| Mbakuba wansi ne batayinza kuyimukawo, bagwa wansi ne mbalinnyako. |
|
| 39 |
|
| Ompa amaanyi okulwana, ne mpangula abannumba. |
|
| 40 |
|
| Waleetera abalabe bange okunziruka, abo abankyawa nabazikiriza. |
|
| 41 |
|
| Baakoowoola ow'okubayamba ne wataba abawonya. Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu. |
|
| 42 |
|
| Mbasekulasekula ne bafuuka ng'enfuufu etwalibwa empewo, ne mbalinnyirira ng'ebitosi eby'omu nguudo. |
|
| 43 |
|
| Omponyezza okwegugunga kw'abantu, n'onfuula omufuzi w'amawanga. Abantu be saamanyanga balimpeereza. |
|
| 44 |
|
| Ab'amawanga amalala balinfukaamirira, oluliwulira ebigambo byange baliŋŋondera. |
|
| 45 |
|
| Baliggwaamu amaanyi, baliva mu bifo byabwe bye beekwekamu, ne bajja nga bakankana. |
|
| 46 |
|
| Mukama mulamu! Ye antaasa, atenderezebwe! Era Katonda andokola agulumizibwe! |
|
| 47 |
|
| Ye Katonda ansobozesa okuwangula abalabe bange, n'awangula amawanga ngafuge, |
|
| 48 |
|
| n'amponya abampalana. Ayi Mukama, onsobozesa okufufuggaza abalabe bange, omponya abantu abajjudde obukambwe. |
|
| 49 |
|
| Kyennaavanga nkutenda mu mawanga, nnaayimbanga okukutendereza. |
|
| 50 |
|
| Katonda gw'awadde obwakabaka amuwa obuwanguzi obw'amaanyi. Akwatirwa ekisa omusiige we Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna. |
|
|
|
|