1
Ayi Mukama, nkwagala, ggwe maanyi gange.
2
Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola. Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga. Ye ngabo yange, ge maanyi ag'obulokozi bwange, ye yankuuma.
3
Mukama asaanira okutenderezebwa: mmukoowoola n'amponya abalabe bange.
4
Nali nneetooloddwa akabi ak'okufa, Amayengo ag'okunzikiriza ne ganjiikako.
5
Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Emitego egy'olumbe gyankwasa.
6
Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu Yeekaalu ye, Bye nnakaabira mu maaso ge naabiwulira.
7
Ensi yayuuguuma, n'ekankana. Emisingi gy'ensozi gyajugumira, neginyeenyezebwa, Kubanga yali asunguwadde.
8
Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, Omuliro ogusenkenya n'amanda agaaka, Ne biva mu kamwa ke.
9
Yakutamya eggulu n'akka, N'ekizikiza ekikutte ennyo nga kiri wansi w'ebigere bye.
10
Ne yeebagala kerubi n'abuuka: N'agendera mangu ku biwaawaatiro eby'empewo.
11
Ekizikiza n'akifuula eky'okwekwekamu, ne kimukweka. Ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola.
12
Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ne muva ebire ebikutte, Amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
13
Mukama n'abwatuka mu ggulu, Eddoboozi ly'oyo ali waggulu ennyo ne liwulirwa, Ne wabaawo amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
14
N'alasa obusaale bwe, abalabe be n'abasaasaanya. N'abagoba n'okumyansa okungi.
15
Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne girabika, Mu kunenya kwo, ayi Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo.
16
Mukama yasinziira mu ggulu, n'ankwata, N'anzigya mu mazzi amangi.
17
Yamponya eri ommulabe wange ow'amaanyi, N'eri abo abankyawa, kubanga nze, bansinza amaanyi.
18
Bannumba nga ndi mu buzibu, Naye Mukama ye nankuuma.
19
Yantuusa mu kifo ekigazi, Namponya kubanga yanjagala.
20
Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde.
21
Kubanga n'akwata amakubo ga Mukama, Ne siva ku Katonda wange nga nkola obubi.
22
Nnakwata ebiragiro bye byonna, Era ssaajeemera na mateeka ge.
23
Saalina musango mu maaso ge, Nneekuuma ne sikola kibi.
24
Mukama kyavudde ansasula, ng'obutuukirivu bwange bwe buli, Kubanga nkola ebirungi mu maaso ge.
25
Oli mwesigwa eri oyo omwesigwa, Oli mutuukirivu eri oyo omutuukirivu.
26
Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu; N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
27
Kubanga onoolokolanga abantu, abajoogebwa, Naye nootoowaza abo abeekulumbaza.
28
Ggwe ompa ekitangaala, Mukama Katonda wange n'omulisa mu kizikiza kyange.
29
Ggwe onnyamba okulumba abalabe bange. Ggwe ompa amaanyi okuwangula ekigo kyabwe.
30
Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, Ekigambo kya Mukama kya mazima, Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.
31
Kubanga ani Katonda, wabula Mukama? Era ani olwazi, wabula Katonda waffe?
32
Katonda ampa amaanyi, Era akuuma ekkubo lyange.
33
Anyweza ebigere byange ng'eby'empeewo: Ankuumira waggulu ku nsozi.
34
Anjigiriza okulwana, Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo.
35
Ompadde engabo ey'obulokozi bwo, N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.
36
Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange, Siiseererenga kugwa.
37
Ngoba abalabe bange, ne mbakwata, Sikomawo nga sinnabazikiriza.
38
Mbakuba wansi ne batayinza kuyimukawo, Bagwa wansi w'ebigere byange.
39
Kubanga ompadde amaanyi ag'okulwana, Obafukamizza mu maaso gange abannumba.
40
Waleetera abalabe bange okunziruka, Abo abankyawa nnabazikiriza.
41
Baakoowoola ow'okubayamba nga tewaali abawonya. Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu.
42
Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbalinnyirira ng'ebitosi eby'omu nguudo.
43
Omponyezza okwegugunga kw'abantu; Onfudde omufuzi w'amawanga. Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.
44
Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera. Bannaggwanga balinjeemulukukira.
45
Bannaggwanga baliggwaawo, Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana.
46
Mukama mulamu: olwazi lwange atenderezebwe. Agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange.
47
Ye Katonda ampalanira eggwanga, Era awangula amawanga ngafuge.
48
Amponya eri abalabe bange. Weewaawo, ompadde okufufuggaza abalabe bange, Omponyeza eri abantu abakambwe.
49
Kyenaavanga nkwebaza ggwe, ayi Mukama, mu mawanga, Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo.
50
Obuwanguzi abuwadde kabaka we, Era amukoledde eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.