Luganda Bible
|
| 1 |
| Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye. |
| 2 |
| Omusana gugamba ebigambo omusana, N'ekiro kiraga amagezi ekiro. |
| 3 |
| Siwali bigambo newakubadde olulimi; Eddoboozi lyabyo teriwulikika. |
| 4 |
| Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi. Abiteekeddemu enjuba eweema, |
| 5 |
| Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye, Era esanyuka ng'ow'amaanyi okuyita mu lugendo lwayo. |
| 6 |
| Evaayo ku nkomerero y'eggulu, Ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo: So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo. |
| 7 |
| Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi. |
| 8 |
| Okuyigiriza kwa Mukama kwabutuukirivu, okusanyusa omutima: Ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso. |
| 9 |
| Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna: Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala: |
| 10 |
| Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n'ezaabu ennyingi ennungi: Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo. |
| 11 |
| Era ebyo bye birabula omuddu wo: Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene. |
| 12 |
| Ani ayinza okukebera ebyonoono bye? Onnongoose mu bibi ebikisibwa. |
| 13 |
| Era ne mu by'amalala oziyize omuddu wo; Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, So omusango ogw'okwonoona okunene tegulinsinga. |
| 14 |
| Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/019.mp3
150
19