Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Eggulu liraga ekitiibwa kya Katonda, n'ebiri mu bbanga byoleka omulimu gwe. |
| 2 |
| Buli lunaku oluggwaako lukibuulira oluddirira. N'ekiro ekiba kiggwaako kikimanyisa kinnaakyo. |
| 3 |
| Tebirina bigambo wadde emboozi, eddoboozi lyabyo teriwulirwa. |
| 4 |
| Naye obubaka bwabyo bubunye mu nsi yonna, n'amakulu gaabyo gatuuka gy'ekoma. Ku ggulu Katonda kwe yateeka ekisulo ky'enjuba, |
| 5 |
| eri ng'awasa omugole, bw'ava mu nnyumba ye ng'asanyuka, era ng'eri ng'omusajja ow'amaanyi, n'etandika olugendo lwayo. |
| 6 |
| Evaayo ku ludda olumu olw'eggulu, n'eryetooloola okutuuka ku ludda olulala. Tewali kyekweka bbugumu lyayo. |
| 7 |
| Etteeka lya Mukama lyatuukirira, lizzaamu amaanyi. Mukama by'alagira byesigika, biwa abatamanyi amagezi. |
| 8 |
| Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu, kusanyusa omutima. Ekiragiro kya Mukama kitukuvu, kitangaaza amaaso. |
| 9 |
| Okussaamu Mukama ekitiibwa kulungi, kusigalawo emirembe n'emirembe. Ensala Mukama gy'asalamu emisango, ya mazima era ntuufu ddala. |
| 10 |
| Ebyo bisaanye okuyaayanirwa okusinga zaabu akira obulungi. Biwoomerevu okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo. |
| 11 |
| Era ebyo bye birabula omuweereza wo. Okubikuuma kulimu empeera nnene. |
| 12 |
| Naye ani ayinza okumanya ensobi ze? Nnaazaako ebibi ebikisiddwa. |
| 13 |
| Nze omuweereza wo mponya okwekulumbaza kulemenga okunfuga. Bwe ntyo mbe nga siriiko kye nvunaanibwa, nga sirina musango munene. |
| 14 |
| Siima ebigambo byange n'ebirowoozo byange ayi Mukama ekiddukiro kyange, era omununuzi wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/019.mp3
150
19