Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye. |
| 2 |
| Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye, era liraga amagezi ge buli kiro. |
| 3 |
| Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa, era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika. |
| 4 |
| Naye obubaka bwabyo bubunye mu nsi yonna. Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema. |
| 5 |
| Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye, era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka. |
| 6 |
| Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu, ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo, era tewali kyekweka bbugumu lyayo. |
| 7 |
| Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna, era kizzaamu amaanyi mu mwoyo. Etteeka lya Mukama lyesigika, ligeziwaza abatalina magezi. |
| 8 |
| Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu, kusanyusa omutima gw’oyo akugondera. Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso, bye galaba. |
| 9 |
| Okutya Mukama kirungi, era kya mirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya, era bya butuukirivu ddala. |
| 10 |
| Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu, okusingira ddala zaabu ennungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki, okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo. |
| 11 |
| Ebyo bye birabula omuddu wo, era mu kubigondera muvaamu empeera ennene. |
| 12 |
| Ani asobola okulaba ebyonoono bye? Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa. |
| 13 |
| Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere, bireme kunfuga. Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi. |
| 14 |
| Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange, bisiimibwe mu maaso go, Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/019.mp3
150
19