×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 19

1
Eggulu liraga ekitiibwa kya Katonda, N'ebiri mu bbanga byoleka omulimu gwe.
2
Buli lunaku oluggwako lutegeeza oluddirira. N'ekiro kitegeeza kinnaakyo ekiddirira.
3
Tebirina bigambo newakubadde olulimi, Eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4
Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi. Ku ggulu Katonda kwe yateeka ekisulo ky'enjuba,
5
Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye, Era esanyuka ng'ow'amaanyi Nga etandiika olugendo lwayo.
6
Evaayo ku ludda olumu olw'eggulu, Ne yeetooloola okutuuka ku ludda olulala. So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo.
7
Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme. Ebiragiro bya Mukama bye sigika, biwa abatamanyi amagezi.
8
Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima. Ekiragiro kya Mukama kitukuvu, kireeta okutegeera.
9
Okutya Mukama kulungi, kusigalawo emirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya mazima, bya butuukirivu ddala.
10
Bisaanira okubiyaayaanira okusinga zaabu, zaabu omulungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.
11
Era ebyo bye birabula omuddu wo. Okubikuuma kulimu empeera ennene.
12
Ani ayinza okukebera ebyonoono bye? Nziggyako ebibi bibi ebikisiddwa.
13
Nze omuddu wo onziggye mu bujeemu bwonna, Buleme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, Omusango ogw'okwonoona guleme okumbaako.
14
Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ayi Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes