Luganda Bible
|
| 1 |
| Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga, N'abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaliimu? |
| 2 |
| Bakabaka ab'ensi beeteeseteese, N'abafuga bateesezza ebigambo wamu, Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti |
| 3 |
| Ka tumenyemenye enjegere zaabwe, Tusuule wala emigwa gyabwe. |
| 4 |
| Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira. |
| 5 |
| Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe, Alibateganya mu kiruyi kye ekingi: |
| 6 |
| Naye naateeka kabaka wange Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni. |
| 7 |
| Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange; Leero nkuzadde. |
| 8 |
| Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, N'ensonda ez'ensi okubeera amatwale go. |
| 9 |
| Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma; Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi. |
| 10 |
| Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka: Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi. |
| 11 |
| Muweereze Mukama n'okutya, Era musanyuke n'okukankana. |
| 12 |
| Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/002.mp3
150
2