Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Lwaki amawanga geegugunga, n'abantu ne balowooza ebitaliimu? |
| 2 |
| Bakabaka b'ensi baateekateeka, n'abafuzi bateeseza wamu okulwanyisa Mukama n'omusiige we |
| 3 |
| nga bagamba nti: “Ka tukutule enjegere zaabwe, tweggyeko ekikoligo kyabwe.” |
| 4 |
| Mukama ng'ali waggulu abasunga era abasekerera. |
| 5 |
| Olwo n'abagamba ng'asunguwadde, n'abatiisa ng'aswakidde nti: |
| 6 |
| “Ku lusozi lwange olutukuvu Siyooni, nateekako kabaka.” |
| 7 |
| “Nja kulangirira ekiragiro kya Mukama. Mukama yagamba nti: ‘Oli mwana wange, olwaleero nkuzadde. |
| 8 |
| Nsaba, nze ndikuwa amawanga gonna n'ensi yonna, bibe bibyo. |
| 9 |
| Olibimenya n'omuggo ogw'ekikomo, olibyasaayasa ng'entamu y'omubumbi.’ ” |
| 10 |
| Kale kaakano bakabaka mugeziwale, abafuzi b'ensi muyige. |
| 11 |
| Muweereze Mukama nga mutya. Mumusseemu ekitiibwa nga mukankana, |
| 12 |
| sikulwa ng'asunguwala ne muzikirira. Obusungu bwe tebulwa kusituka. Ba mukisa abo bonna abamweyuna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/002.mp3
150
2