BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Lwaki ab'amawanga beejuumuula, n'abantu bakola enkwe omutali nsa? |
| 2 |
| Bakabaka b'ensi batala, n'abafuzi bakuŋŋaana, okulwanyisa Omukama n'Omusiige we. |
| 3 |
| “Tukutule amasamba gaabwe; tukasuke eri enjegere zaabwe.” |
| 4 |
| Oyo awaŋŋamye mu ggulu yeesekera; Omukama abasekerera. |
| 5 |
| Awo n'ababoggolera mu busungu bwe, mu buswandi bwe n'abakanga nti: |
| 6 |
| “Ntaddewo kabaka wange ku Siyoni, olusozi lwange olutukuvu.” |
| 7 |
| Nzija kumanyisa ekirangiriro ky'Omukama: Yaŋŋamba nti: “Ggwe oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde. |
| 8 |
| Nsaba, nzija kukuwa amawanga bubeere busika bwo; n'enkingi z'ensi zibeere butaka bwo. |
| 9 |
| Olibabetenta ne ddamula ow'ekyuma; n'obaasaayasa ng'ekibya ky'omubumbi.” |
| 10 |
| Kale nno, mmwe bakabaka, mugeziwale; mulabuke, mmwe abafuzi b'ensi. |
| 11 |
| Muweereze Omukama n'okutya; mweyale ku bigere bye nga mukankana. |
| 12 |
| Sikulwa ng'asunguwala ne musaanyizibwawo mu kkubo lyammwe; kubanga obusungu bwe butumbuka mangu. Beesiimye bonna abaddukira gy'ali. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/002.mp3
150
2