Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Lwaki amawanga geegugunga n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe? |
| 2 |
| Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye, n’abafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti, |
| 3 |
| “Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.” |
| 4 |
| Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa. |
| 5 |
| N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu, n’abatiisa nnyo ng’aswakidde. |
| 6 |
| N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.” |
| 7 |
| Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama: kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange, olwa leero nfuuse kitaawo. |
| 8 |
| Nsaba, nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo, era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go. |
| 9 |
| Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma, era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.” |
| 10 |
| Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka; muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi. |
| 11 |
| Muweereze Mukama nga mumutya, era musanyuke n’okukankana. |
| 12 |
| Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe; kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/002.mp3
150
2