EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga, N'abantu kiki ekibalowoozesa ebitaliimu? |
| 2 |
| Bakabaka ab'ensi bateekateeka, N'abafuga bateesezza ebigambo wamu, Ku Mukama ne ku Masiya we nga bagamba nti, |
| 3 |
| “Ka tukutule enjegere zaabwe, Tweggyeko ekikoligo kyabwe.” |
| 4 |
| Atuula mu ggulu abasekerera, Mukama alibaduulira. |
| 5 |
| Aliyogera nabo ng'asunguwadde, N'abatiisa ng'aswakidde. |
| 6 |
| “Nnateeka kabaka wange Ku lusozi lwange olutukuvu, Sayuuni.” |
| 7 |
| Nja kulangirira ekiragiro kya Mukama, Mukama yaŋŋamba nti, “Ggwe oli mwana wange, Olwa leero nkuzadde.” |
| 8 |
| Nsaba nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, N'ensi yonna okubeera eyiyo. |
| 9 |
| Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma; Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi. |
| 10 |
| Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka, Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi. |
| 11 |
| Muweereze Mukama n'okutya, N'okukankana. |
| 12 |
| Munywegere omwana, aleme okusunguwala, si kulwa nga muzikirizibwa, Kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Ba mukisa abo bonna abamweyuna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/002.mp3
150
2