EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mukama addemu okusaba kwo ku lunaku olw'obuyinike. Katonda wa Yakobo akukuume, |
| 2 |
| Akuyambe ng'asinziira mu kifo ekitukuvu, Akubeere ng'asinziira mu Sayuuni. |
| 3 |
| Ajjukire bye wawaayo byonna, Akkirizenga ssaddaaka yo enjokye; |
| 4 |
| Akuwe omutima gwo kye gwagala, Atuukirize okuteesa kwo kwonna. |
| 5 |
| Tuleekaane olw'essanyu ng'owangudde. Mu linnya lya Katonda waffe tuwanike ebendera zaffe. Mukama akuwe by'osaba byonna. |
| 6 |
| Kaakano mmanyi nga Mukama ayamba oyo gwe yasiiga amafuta; Amuddamu ng'asinziira mu ggulu lye ettukuvu Olw'obuyinza bwe, amusobozesa okuwangula. |
| 7 |
| Abamu beesiga amagaali, abalala beesiga embalaasi. Naye ffe twesiga maanyi ga Mukama Katonda waffe. |
| 8 |
| Abantu abo balineguka ne bagwa, Naye ffe tuligolokoka ne tuyimirira. |
| 9 |
| Wa kabaka okuwangula. Ayi Mukama otuddemu bwe tukoowoola. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/020.mp3
150
20