Luganda Bible
|
| 1 |
| Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama; N'obulokozi bwo ng'anaabujagulizanga nnyo! |
| 2 |
| Omuwadde omutima gwe kye gwagala, So tomummye emimwa gye kye gisabye. (Seera) |
| 3 |
| Kubanga omusisinkanye n'eby'omukisa eby'obulungi: Omuteekako ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi. |
| 4 |
| Yakusaba obulamu, n'obumuwa; Era n'ennaku ennyingi ez'emirembe n'emirembe. |
| 5 |
| Ekitiibwa kye kingi mu bulokozi bwo: Ekitiibwa n'obukulu obimussaako. |
| 6 |
| Kubanga omuteekawo okuba omukisa omungi emirembe gyonna: Omusanyusa essanyu mu maaso go. |
| 7 |
| Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga. |
| 8 |
| Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa. |
| 9 |
| Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya. |
| 10 |
| Ebibala byabwe olibizikiriza ku nsi, N'ezzadde lyabwe mu baana b'abantu. |
| 11 |
| Kubanga baakuteeseza obubi: Baasala olukwe, lwe bataayinza kukola. |
| 12 |
| Kubanga olibazza ennyuma, Oliteekateeka engoye zo ez'omutego ku maaso gaabwe. |
| 13 |
| Ogulumizibwenga, ai Mukama, mu maanyi go: Tulyoke tuyimbenga tutenderezenga obuyinza bwo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/021.mp3
150
21