EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mu maanyi go, ayi Mukama, Kabaka asanyuka, Akugulumiza nnyo, |
| 2 |
| Kubanga omuyambye okuwangula. So tomummye ye yennyini ky'akusabye. |
| 3 |
| Ozze gyali n'emikisa emingi ddala, N'omutikkira ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi. |
| 4 |
| Yakusaba obulamu, N'omuwa okuwangaala emirembe n'emirembe. |
| 5 |
| Ekitiibwa kye kingi olw'obuyinza bwo, Wamuwa ekitiibwa n'ettendo. |
| 6 |
| Omufudde ow'omukisa omungi emirembe gyonna: Okubeerawo kwo kumusanyusa. |
| 7 |
| Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga. |
| 8 |
| Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa. |
| 9 |
| Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya. |
| 10 |
| Abaana baabwe olibazikiriza ku nsi, N'obamalirawo ddala mu baana b'abantu. |
| 11 |
| Ne bwe baliteesa okumukolako akabi, Ne bwe balisala enkwe, tebalisobola, |
| 12 |
| Kubanga olibafummuula, Olibaleegamu obusaale mu maaso, Ne bakyuka ne badduka. |
| 13 |
| Ogulumizibwenga, ayi Mukama, olw'amaanyi go, Tunaayimbanga ne tutendereza obuyinza bwo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/021.mp3
150
21