|
| 1 |
|
| Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange? |
|
| 2 |
|
| Ai Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu; Era n'ekiro, so ssisirika. |
|
| 3 |
|
| Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri. |
|
| 4 |
|
| Bajjajja baffe baakwesiganga ggwe: Beesiganga, naawe n'obawonya. |
|
| 5 |
|
| Baakukoowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi. |
|
| 6 |
|
| Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu; Abasajja gwe bavuma, n'abantu gwe banyooma. |
|
| 7 |
|
| Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti |
|
| 8 |
|
| Yeeweeyo eri Mukama; ye amulokole: Amuwonye, kubanga amusanyukira. |
|
| 9 |
|
| Naye ggwe wanziya mu lubuto lwa mmange: Ggwe wanneesiza bwe nnali nga nkyali ku mabeere ga mmange. |
|
| 10 |
|
| Neeyuna ggwe okuva mu kuzaalibwa kwange: Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange. |
|
| 11 |
|
| Tombeera wala; kubanga akabi kali kumpi; Kubanga tewali anannyamba. |
|
| 12 |
|
| Zisseddume nnyingi zinneetoolodde: Zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani zinzingizizza. |
|
| 13 |
|
| Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma. |
|
| 14 |
|
| Nfukibwa ng'amazzi, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuuse wakati mu byenda byange. |
|
| 15 |
|
| Amaanyi gange gakaliridde ng'olugyo; N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange; Era ondeese mu nfuufu ey'okufa. |
|
| 16 |
|
| Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza; Bampummudde engalo zange n'ebigere byange. |
|
| 17 |
|
| Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso: |
|
| 18 |
|
| Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange: |
|
| 19 |
|
| Naye tobeera wala, ai Mukama: Ai ggwe annyamba, yanguya okunzibira. |
|
| 20 |
|
| Wonya emmeeme yange eri ekitala; Ne kaganzi kange eri amaanyi g'embwa: |
|
| 21 |
|
| Ondokole mu kamwa k'empologama; Era ne mu mayembe g'embogo wanziramu. |
|
| 22 |
|
| Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange: Wakati mu kibiina naakutenderezanga. |
|
| 23 |
|
| Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga; Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga; Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri. |
|
| 24 |
|
| Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira. |
|
| 25 |
|
| Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene: Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya. |
|
| 26 |
|
| Abawombeefu balirya ne bakkuta: Balitendereza Mukama abamunoonya: Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna. |
|
| 27 |
|
| Enkomerero zonna ez'ensi zirijjukira ne zikyukira Mukama: N'ebika byonna eby'amawanga birisinza mu maaso go. |
|
| 28 |
|
| Kubanga obwakabaka bwa Mukama: Naye ye afuga amawanga. |
|
| 29 |
|
| Abagevvu bonna ab'ensi balirya ne basinza: N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa. |
|
| 30 |
|
| Ezzadde lirimuweereza; Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja. |
|
| 31 |
|
| Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe Eri abantu abalizaalibwa, nga ye abukola: |
|
|
|
|