×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 22

1
Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki onneesuula n'otonnyamba, era n'otowulira kukaaba kwange?
2
Ayi Katonda wange, nkoowoola emisana, n'otoddamu! N'ekiro nkoowoola, ne siwummula!
3
Naye ggwe mutuukirivu atuula ku ntebe yo, abantu ba Yisirayeli ne bakutendereza.
4
Ye ggwe bajjajjaffe gwe beesiganga, baakwesiganga n'obawonya.
5
Baakukoowoolanga ne bawona akabi, tebaakwesigiranga bwereere.
6
Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu. Abantu bonna banvuma era bannyooma.
7
Bonna abandaba bansekerera ne banduulira. Bandagamu emimwa, ne banyeenya n'emitwe nga bagamba nti:
8
“Yeesiga Mukama, kale Mukama amuwonye. Oba nga Mukama amwagala, kale amuyambe.”
9
Naye ggwe wanzigya mu nda ya mmange, ggwe wankuuma nga nkyayonka.
10
Neesiga ggwe okuviira ddala lwe nazaalibwa, era okuva olwo ggwe Katonda wange.
11
Tombeera wala, kubanga akabi kali kumpi, era tewali annyamba.
12
Abalabe bangi banneetoolodde, bantaayizizza nga bali ng'ente endalu eza sseddume ez'omu nsi Basani.
13
Banjasamiza akamwa kaabwe ng'empologoma etaamye, ewuluguma.
14
Njiiseyiise ng'amazzi, n'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'envumbo: gusaanuukidde mu kifuba kyange.
15
Amaanyi gange gakalidde ng'oluggyo, n'olulimi lwange lukwatidde ku kibuno kyange. Ondese nfiire mu nfuufu.
16
Ekibinja ky'abakola ebibi kinneetoolodde, bali ng'embwa ezintaayizizza. Ebibatu n'ebigere byange babiwummudde.
17
Amagumba gange gonna galabika, bantunuulira ne banvulumulira amaaso.
18
Baagabana ebyambalo byange, olugoye lwange ne balukubira akalulu.
19
Naye ggwe ayi Mukama, leka kumbeera wala. Ayi ggwe annyamba, yanguwa okunziruukirira.
20
Mponya ekitala, obulamu bwange buwonye embwa.
21
Mponya empologoma, nze ateeyamba mponya embogo.
22
Ndikumanyisa mu baganda bange, ndikutenderereza mu kkuŋŋaaniro wakati.
23
Mmwe abassaamu Mukama ekitiibwa mumutendereze, bazzukulu ba Yakobo mwenna, mugulumize Mukama, abantu ba Yisirayeli mwenna, mumusseemu ekitiibwa;
24
kubanga teyanyooma munaku, oba obutamufaako mu buyinike bwe, wadde okumukuba amabega.
25
Ggwe ompeesa ettendo nga ndi mu kibiina ekinene. Bye neeyama nja kubituukiriza mu maaso g'abakussaamu ekitiibwa.
26
Abaavu balirya ne bakkuta, abanoonya Mukama balimutendereza, babeerenga balamu bulijjo.
27
Amawanga gonna galijjukira Mukama, abantu ab'omu nsi zonna balimusinza,
28
kubanga Mukama ye kabaka, ye afuga amawanga.
29
Bonna abeekulumbaza balimuvuunamira, n'abo bonna ab'okudda mu nfuufu balimufukaamirira.
30
Abaana abalizaalibwa balimuweereza, abantu balitegeeza ab'omulembe ogujja ebifa ku Mukama.
31
Abantu abatannazaalibwa balibuulirwa nti: “Mukama yalokola abantu be.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes