×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 22

1
Eri omuyimbisa. Lugenda nga 'Empeewo y'oku Mmambya'. Zabbuli ya Dawudi.
2
Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki weesambye eky'okumponya? Lwaki weesuubye ebigambo by'okukungubaga kwange?
3
Katonda wange, obw'emisana nkowoola, naye toddamu, n'ekiro sirisiriikiriramu.
4
Naye ggwe oli mutuukirivu, owaŋŋamye ku matendo ga Yisirayeli.
5
Mu ggwe bajjajjaffe mwe bassa obwesige bwabwe; baasuubira n'obawonya.
6
Baakuwanjagira, ne banunulibwa; baasuubira mu ggwe, tebaaswala.
7
Naye nze ndi nvunyu, siri muntu; njoogebwa abantu, ngayibwa ekibiina.
8
Bonna abandaba bansekerera; bansongamu emimwa, ne bannyeenyeza omutwe:
9
“Mbu yeesiga Omukama; kale nno amulokole; amuwonye, anti amwesiimiramu.”
10
Naye ggwe wanzigya mu lubuto, wankuuma bwe nali nkyali ku mabeere ga nnyabo.
11
Olwava mu lubuto ne nsuulirwa ggwe; okuva mu lubuto lwa nnyabo ggwe Katonda wange.
12
Tonneesuuba, kubanga akabi kasembedde, tewali wa kunnyamba.
13
Seddume ennyingi zinneetoolodde, Zisseddume z'e Basani zinneebunguludde.
14
Zinjasamizza emimwa gyazo; empologoma etaagula omuyiggo gwayo.
15
Njiyiddwa ng'amazzi, n'amagumba gange gonna gasowose; omutima gwange gufuuse ng'envumbo, guntekemuse munda.
16
Amaanyi gange gakaze ng'oluggyo, n'olulimi lunkwatidde ku kibuno; ontuuzizza mu nfuufu y'olumbe.
17
Embwa zinneebunguludde, ekibondo ky'ababi kinzingizza, emikono gyange n'ebigere byange babiwumuggudde,
18
n'amagumba gange gonna nsobola okugabala; abantu batunuulira ne beerolera.
19
Ebyambalo byange baabigabana, olugoye lwange ne balukubako akalulu.
20
Ggwe nno, ayi Mukama toyimirira wala; ayi maanyi gange, yanguwa okunnyamba.
21
Omwoyo gwange guwonye ekitala, n'obulamu bwange buno bwokka buggye mu mikono gy'embwa.
22
Mponya mu kamwa k'empologoma nze omutene, mponya amayembe g'embogo.
23
Ndirangirira erinnya lyo mu baganda bange; ndikutendereza mu kibiina wakati:
24
“Abatya Omukama, mumutendereze. Mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumize, mumutye, mwenna ezzadde lya Yisirayeli.
25
Anti teyanyooma, yadde okwenyinyala obunaku bw'omunkuseere; amaaso ge teyagamukweka, bwe yamuwanjagira, yamuwulira.
26
Ewuwo y'eva ettendo lyange mu lukuŋŋaana olukulu; bye neetema nzija kubituukiriza mu maaso g'abamutya bonna.
27
Abaavu balirya ne bakkuta; abo abanoonya Omukama balimutenda. Emitima gyammwe gibeerewo emirembe gyonna.”
28
Enkingi zonna ez'ensi zirijjukira ne zidda eri Omukama, ebika byonna eby'amawanga biryeyala mu maaso ge.
29
Kubanga obufuzi bwa Mukama; ye y'afuga amawanga.
30
Bonna abagalamidde mu ttaka yekka gwe balivunnamira, bonna abakkirira mu nfuufu, balikuba amavi mu maaso ge, abo abatakyasobola kwebeezaawo nga balamu.
31
Abazzukulu baliweereza Omukama, balinyumya ku Mukama eri ezzadde erijja.
32
Balirangirira obutuufu bwe eri abantu kati abatannazaalibwa, nti ye yakikola.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Gaabu Hantumya