|
| 1 |
|
| Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okunneesamba n'otonnyamba, n'otowulira kukaaba kwange? |
|
| 2 |
|
| Ayi Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu! Era n'ekiro, so ssisirika. |
|
| 3 |
|
| Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri. |
|
| 4 |
|
| Bajjajjaffe baakwesiganga ggwe: Baakwesiganga, naawe n'obawonya. |
|
| 5 |
|
| Baakukoowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi. |
|
| 6 |
|
| Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu. Abantu bonna banvuma, bannyooma. |
|
| 7 |
|
| Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti: |
|
| 8 |
|
| “Yeesiga Mukama, kale ye amulokole: Amuwonye, kubanga amwagala.” |
|
| 9 |
|
| Naye ggwe wanzigya mu lubuto lwa mmange, Ggwe wankuuma bwe nnali nga Nkyayonka. |
|
| 10 |
|
| Nneesiga ggwe okuviira ddala mu kuzaalibwa kwange. Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange. |
|
| 11 |
|
| Tombeera wala, kubanga akabi kali kumpi, Kubanga tewali anannyamba. |
|
| 12 |
|
| Abalabe bangi banneetoolodde, Balinga zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani banzingizizza. |
|
| 13 |
|
| Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaamye ewuluguma. |
|
| 14 |
|
| Ninga amazzi agayiise ku ttaka, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuukidde mu kifuba kyange. |
|
| 15 |
|
| Amaanyi gange gakaliridde ng'oluggyo, N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange, Ondese nfiire mu nfuufu. |
|
| 16 |
|
| Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza. Bawummudde engalo zange n'ebigere byange. |
|
| 17 |
|
| Nnyinza okubala amagumba gange gonna. Bantunuulira, banvulumulira amaaso. |
|
| 18 |
|
| Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange. |
|
| 19 |
|
| Naye tobeera wala, ayi Mukama. Ayi ggwe annyamba, yanguya okunziruukirira. |
|
| 20 |
|
| Mponya ekitala, Obulamu bwange buwonye embwa. |
|
| 21 |
|
| Ondokole eri empologoma, N'obulamu bwange okuva mu mayembe g'embogo. |
|
| 22 |
|
| Nnaabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange, Wakati mu kibiina nnaakutenderezanga. |
|
| 23 |
|
| Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga. Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri. |
|
| 24 |
|
| Kubanga teyanyooma, oba obutamufaako oyo ali mu buyinike, Wadde okumukuba amabega. Naye bwe yamukoowoola, n'awulira. |
|
| 25 |
|
| Ggwe ompeesa ettendo nga ndi mu kibiina ekinene. Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abakutya. |
|
| 26 |
|
| Abaavu balirya ne bakkuta, Abanoonya Mukama balimutendereza, Babeerenga balamu emirembe gyonna. |
|
| 27 |
|
| Amawanga gonna galijjukira ne gakyukira Mukama, N'ebika byonna eby'amawanga birimusinza. |
|
| 28 |
|
| Kubanga Mukama ye kabaka, Ye yafuga amawanga. |
|
| 29 |
|
| Bonna abeekulumbaza ab'ensi balimuvuunamira, ne bamusinza. N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa. |
|
| 30 |
|
| Abaana abazaalibwa balimuweereza, Abantu balitegeeza ab'omulembe ogujja ebifa ku Mukama. |
|
| 31 |
|
| Balibuulira obulokozi bwa Mukama, Abantu abalizaalibwa. |
|
|
|
|