Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama ye musumba wange; seetaagenga: |
| 2 |
| Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto: Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu. |
| 3 |
| Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye. |
| 4 |
| Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa. |
| 5 |
| Onteekerateekera emmeeza mu maaso g'abalabe bange: Onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa. |
| 6 |
| Obulungi n'ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez'obulamu bwange: Nange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/023.mp3
150
23