×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 23

1
Mukama ye annunda, siriiko kye njula.
2
Andeka ne ngalamira mu malundiro ag'omuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu.
3
Anzizaamu amaanyi, annuŋŋamya mu makubo amatuufu nga bwe yasuubiza.
4
Ne bwe ntambulira mu kiwonvu ekikutte ekizikiza, sirina kabi ke ntya, kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n'omuggo gwo bye binkuuma.
5
Onteekerateekera olujjuliro ng'abalabe bange batunula. Onsiize omuzigo ku mutwe, ekikopo kyange kibooze.
6
Ddala obulungi bwo n'ekisa kyo biriba nange obulamu bwange bwonna. Nnaabeeranga mu Nnyumba ya Mukama bulijjo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes