Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mukama ye Musumba wange, seetaagenga. |
| 2 |
| Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu. |
| 3 |
| Akomyawo emmeeme yange. Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu olw’erinnya lye. |
| 4 |
| Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa. |
| 5 |
| Onsosootolera emmere abalabe bange nga balaba; onsiize amafuta ku mutwe, ekikompe kyange kiyiwa. |
| 6 |
| Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ez’obulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/023.mp3
150
23