EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mukama ye musumba wange, sseetaagenga. |
| 2 |
| Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto. Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu. |
| 3 |
| Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye. |
| 4 |
| Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna, kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa. |
| 5 |
| Onteekerateekera ekijjulo nga abalabe bange balaba. Onsiize amafuta ku mutwe, ekikopo kyange kibooze. |
| 6 |
| Obulungi n'ekisa kyo binaabanga nange ennaku zonna ez'obulamu bwange. Nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/023.mp3
150
23