×

Luganda Bible

Zabbuli 24

1
Ensi ya Mukama, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu.
2
Kubanga yagisimba ku nnyanja, Yaginyweza ku mazzi amangi.
3
Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyiminira mu kifo kye ekitukuvu?
4
Oyo alina emikono emirungi, n'omutima omulongoofu; Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, So teyalayiriranga bwereere.
5
Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa, Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe.
6
Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya, Abanoonya amaaso go, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
7
Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Nammwe muyimuke, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
8
Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'amaanyi ow'obuyinza Mukama ow'obuyinza mu kulwana.
9
Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Kale, mugiyimuse, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne Kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
10
Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'eggye, Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa. (Seera)
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes