×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 24

1
Ensi n'ebigirimu byonna bya Mukama, ensi yonna yiye era ne bonna abagiriko.
2
Ye yagiteeka ku nnyanja, ye yaginyweza ku mazzi amangi.
3
Ani alyambuka ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu?
4
Oyo akola ebirungi, era ow'omutima omulongoofu, ateemalira ku bitaliimu nsa, era atalayira bya bulimba.
5
Mukama alimuwa omukisa, Katonda alimufuula mutuukirivu n'amulokola.
6
Abali ng'oyo be bakunoonya, be baagala okukulaba, ayi Katonda wa Yakobo.
7
Mugguleewo emiryango n'enzigi ez'edda, ziggulirwewo ddala, Kabaka oweekitiibwa ayingire.
8
Kabaka oweekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow'amaanyi n'obuyinza, Mukama omuzira mu lutalo.
9
Mugguleewo emiryango, n'enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala, Kabaka oweekitiibwa ayingire.
10
Kabaka oweekitiibwa ye ani? Mukama Nnannyinimagye ye Kabaka oweekitiibwa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes