Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna, n’ensi zonna n’abo abazibeeramu. |
| 2 |
| Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja, n’agizimba ku mazzi amangi. |
| 3 |
| Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya? Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu? |
| 4 |
| Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu; atasinza bakatonda abalala, era atalayirira bwereere. |
| 5 |
| Oyo Mukama anaamuwanga omukisa, n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe. |
| 6 |
| Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya, Ayi Katonda wa Yakobo. |
| 7 |
| Mweggulewo, mmwe bawankaaki! Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda, Kabaka ow’ekitiibwa ayingire. |
| 8 |
| Kabaka ow’ekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza, omuwanguzi mu ntalo. |
| 9 |
| Mweggulewo, mmwe bawankaaki, muggulwewo mmwe enzigi ez’edda! Kabaka ow’ekitiibwa ayingire. |
| 10 |
| Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/024.mp3
150
24