×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 24

1
Ensi ya Mukama, n'ebigirimu byonna, Ensi yonna, n'abo abagirimu.
2
Ye yagiteeka ku nnyanja, Ye yaginyweza ku mazzi amangi.
3
Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu?
4
Oyo akola ebirungi, era ow'omutima omulongoofu. Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, So teyalayiranga bya bulimba.
5
Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa, Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe.
6
Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya, Abanoonya amaaso go, ayi Katonda wa Yakobo.
7
Mugguleewo emiryango, Enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala, Kabaka ow'ekitiibwa ayingire.
8
Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow'amaanyi n'obuyinza, Mukama omuzira mu lutalo.
9
Mugguleewo emiryango, Enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala, Kabaka ow'ekitiibwa ayingire.
10
Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'eggye, Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes