|
| 1 |
|
| Gy'oli, ai Mukama, nnyimusiza emmeeme yange. |
|
| 2 |
|
| Ai Katonda wange, naakwesiganga ggwe, Toŋŋanya kukwatibwa nsonyi; Abalabe bange tobaganya kumpangula. |
|
| 3 |
|
| Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi: Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez'obwereere. |
|
| 4 |
|
| Ondage amakubo go, ai Mukama; Onjigirize empenda zo. |
|
| 5 |
|
| Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize; Kubanga ggwe oli Katonda ow'obulokozi bwange; Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba. |
|
| 6 |
|
| Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n'ekisa kyo; Kubanga byaliwo edda n'edda lyonna. |
|
| 7 |
|
| Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ebyonoono byange: Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ai Mukama. |
|
| 8 |
|
| Mukama ye mulungi era wa mazima: Kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi. |
|
| 9 |
|
| Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga mu musango: Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye. |
|
| 10 |
|
| Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abeekuuma endagaano ye n'okutegeeza kwe: |
|
| 11 |
|
| Olw'erinnya lyo, ai Mukama, Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene. |
|
| 12 |
|
| Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'anaasiimanga. |
|
| 13 |
|
| Emmeeme ye eneetuulanga mu mirembe; N'ezzadde lye linaasikiranga ensi. |
|
| 14 |
|
| Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya; Era anaabalaganga endagaano ye. |
|
| 15 |
|
| Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna; Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika. |
|
| 16 |
|
| Onkyukire, onsaasire; Kubanga ndekeddwa omu ne mbonaabona. |
|
| 17 |
|
| Ennaku ez'omutima gwange zeeyongedde: Kale onziye mu bibonoobono byange. |
|
| 18 |
|
| Lowooza ennaku zange n'okutegana kwange; Era onsonyiwe ebibi byange byonna. |
|
| 19 |
|
| Lowooza abalabe bange, kubanga bangi; Era bankyawa obukyayi obukambwe. |
|
| 20 |
|
| Kale onkuumenga emmeeme yange, omponyenga: Toŋŋanyanga kukwatibwa nsonyi, kubanga nkwesiga ggwe. |
|
| 21 |
|
| Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, Kubanga nnindirira ggwe. |
|
| 22 |
|
| Nunula Isiraeri, ai Katonda, Mu bibonoobono bye byonna. |
|
|
|
|