×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 25

1
Ayi Mukama, nnyimusiza gy'oli omwoyo gwange.
2
Ayi Katonda wange, ggwe neesiga, tondeka kuswala. Toleka balabe bange kunneewaanirako,
3
kubanga abakwesiga tobaleka kuswala, wabula oleka abo abeetawaanyiza obwereere nga basala enkwe.
4
Ndaga amakubo go, ayi Mukama, ndagirira empenda zo.
5
Njigiriza, onnuŋŋamye mu mazima go, kubanga ggwe Katonda wange andokola, ggwe neesiga bulijjo.
6
Ayi Mukama, jjukira ekisa kyo n'okwagala kwo, bye walaga okuva edda n'edda lyonna.
7
Tojjukira bibi wadde ensobi, bye nakola mu buvubuka bwange. Naye mu kisa kyo jjukira nze, ayi ggwe Mukama omulungi.
8
Mukama mulungi era wa mazima, aboonoonyi kyava abalaga ekkubo.
9
Abeetoowaze abaluŋŋamya mu kusala emisango, era abayigiriza ky'ayagala bakole.
10
Engeri Mukama gy'akwatamu abo abatuukiriza endagaano ye ne bye yalagira, ya kisa era ya bwesigwa.
11
Kuuma kye wasuubiza, ayi Mukama, onsonyiwe ebibi byange kubanga binene.
12
Omuntu assaamu Mukama ekitiibwa, Mukama gw'anaalaganga ekkubo ly'agwanira okukwata.
13
Ye yennyini n'ab'ezzadde lye, balifuna ebirungi. Ensi eriba yaabwe.
14
Mukama aba mukwano gw'abo abamussaamu ekitiibwa, era anaakakasanga endagaano gye yakola nabo.
15
Amaaso gange gasimbye ku Mukama ennaku zonna, kubanga ye aggya ebigere byange mu mutego.
16
Ayi Mukama, kyukira gye ndi, onsaasire, kubanga nsigadde bwomu era mbonaabona.
17
Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange, nzigya mu bibonoobono byange.
18
Lowooza ku bunaku bwange, ne ku kutegana kwange onsonyiwe ebibi byange byonna.
19
Laba abalabe bange bwe benkana obungi, laba nga bwe bankyawa ennyo.
20
Kuuma obulamu bwange era omponye, toŋŋanya kuswala, kubanga ggwe nneesiga.
21
Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, kubanga nneesiga ggwe.
22
Ayi Katonda, nunula Yisirayeli mu bibonoobono bye byonna.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes