Luganda Bible
|
| 1 |
| Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange: Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa. |
| 2 |
| Onkebere, ai Mukama, onkeme; Ongezeeko emmeeme yange n'omutima gwange. |
| 3 |
| Kubanga ekisa kyo kiri mu maaso gange; Era natambuliranga mu mazima go. |
| 4 |
| Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa. |
| 5 |
| Ekibiina ky'abo abakola obubi nkikyawa, So siituulenga wamu na babi. |
| 6 |
| Naanaabanga mu ngalo zange mu butayonoona; Bwe nneetooloolanga bwe ntyo ekyoto kyo, ai Mukama: |
| 7 |
| Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery'okwebaza, Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo: |
| 8 |
| Mukama, njagala ekisulo eky'omu nnyumba yo, N'ekifo ekitiibwa kyo kye kituulamu, |
| 9 |
| Tonoga mmeeme yange wamu n'abalina ebibi, Newakubadde obulamu bwange wamu n'abantu ab'omu nsi: |
| 10 |
| Emikono gyabwe girimu ettima, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi. |
| 11 |
| Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange: Onnunule, era onsaasire. |
| 12 |
| Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu: Mu bibiina neebazanga Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/026.mp3
150
26