Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama, nsalira omusango nsinge, kubanga sirina kibi kye nakola, era nkwesiga awatali kubuusabuusa. |
| 2 |
| Nkebera, ayi Mukama, ongeze, olabe omutima gwange n'amagezi gange, |
| 3 |
| kubanga ekisa kyo kye kinnuŋŋamya, era obwesigwa bwo kwe ntambulira. |
| 4 |
| Situula na bantu balimba, era seetaba na bakuusa. |
| 5 |
| Nkyawa ekibiina ky'abakola ebibi, era sikkiriza kutuula na babi. |
| 6 |
| Ayi Mukama, nnaaba mu ngalo okulaga bwe sirina musango, ne neetooloola alutaari yo, |
| 7 |
| nga nnyimba oluyimba olw'okwebaza era nga njogera ku byamagero by'okola. |
| 8 |
| Ayi Mukama, njagala ennyumba yo, n'ekifo omubeera ekitiibwa kyo. |
| 9 |
| Tonsaanyaawo na boonoonyi, obulamu bwange tobuzikiririza wamu na batemu. |
| 10 |
| Bo bakozi ba bibi era bulijjo balya enguzi. |
| 11 |
| Naye nze nkola kye mmanyi nti kituufu. Nkwatirwa ekisa onnunule. |
| 12 |
| Nnyimiridde watereevu, neebazanga Mukama mu kibiina ky'abantu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/026.mp3
150
26