EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Mukama, onsalire omusango nsinge, kubanga ntambulira mu butuukirivu bwange, Era nneesiga Mukama awatali kubuusabuusa. |
| 2 |
| Nkebera, ayi Mukama, ongeze, Olabe emmeeme yange n'omutima gwange. |
| 3 |
| Kubanga ekisa kyo kye kinnuŋŋamya, Era ntambulira mu mazima go. |
| 4 |
| Siituula wamu na bantu abalimba, Era sseetaba na bakuusakuusa. |
| 5 |
| Nkyawa ekibiina ky'abo abakola obubi, Era situula wamu na babi. |
| 6 |
| Nnanaaba mu ngalo zange okulaga bwe sirina musango, Nendyoka nnetooloola ekyoto kyo, ayi Mukama, |
| 7 |
| Nga nnyimba oluyimba olw'okwebaza. Nnaayongeranga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo. |
| 8 |
| Ayi Mukama, njagala okubeera mu nnyumba yo, N'ekifo omubeera ekitiibwa kyo. |
| 9 |
| Tonzikiriza wamu n'abalina ebibi, Era wamu n'abantu abatemu. |
| 10 |
| Bo bakozi ba bibi, Era bali ba nguzi. |
| 11 |
| Naye nze nnaatambuliranga mu butuukirivu bwange. Nsaasira, onnunule. |
| 12 |
| Nnyimiridde mu kifo ekitereevu, Nneebazanga Mukama mu kibiina ky'abantu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/026.mp3
150
26